MANCHESTER City wikendi ewedde yamenyewo likodi ya Chelsea ey'okuba nga tennakubwamu bwe yagiwangudde 1-0.
Bw’otunuulira engeri Man City bwe yatuntuza Chelsea kikulowoozesa nti y’emu ku ttiimu ezitunuulidde ekikopo. Baawambye amakkati ne muyizimutasubwa wa Chelsea, Didier Drogba n’akyusibwa ng’omupiira gugaanyi.
Wabula Man City eno y’emu mu liigi yakubwa dda Sunderland, n’esuula obubonero ku Blackburn ate West Brom n’egiggya mu kikopo kya Carling.
Obukuku bwa Tevez, Adebayor ne Bridge
Kirabika amaanyi abazannyi ba Man City amaanyi ge bafuna nga bazannya ttiimu ennene bagaggya ku bukuku bwe balina ku ttiimu zino gye baava nga ssi basanyufu.
Omuteebi Carlos Tevez eyava mu Man U nga tebakwatagana na Alex Ferguson afiirawo ng’asanze Man U. Sizoni ewedde yokka yakuba Man U ggoolo ssatu mu Carling sso nga ne mu Premier wadde teyateeba ggoolo ezisinga ye yazikola. Kyokka sizoni eyo Man U yabakuba mu mipiira gyombi egya ligii ate mu Carling wadde Man City yabakubira ewaayo 2-1 baamala ne bagikuba 3-1 ku Old Trafford ne bagiwandulamu. Wabula abawagizi ba Man U mwerinde Man City sizoni eno kubanga Tevez ekiruyi kikyamuliko.
Emmanuel Adebayor yava mu Arsenal nga takyakwatagana na bawagizi na bazannyi banne naddala Van Persie. Sizoni ewedde teyakoma ku kulinnyira Van Persie wansi kyokka lwe yabakuba ggoolo ku Emirates sizoni ewedde yadduka ekisaawe n’akimalayo ekyamuweesa ekibonerezo. Ono naye w’asangira Arsenal waakiri azannya okugulu ne kukutukako.
Wayene Bridge yali muzibizi wa Chelsea wabula nga bamutuuza ku katebe nga Ashley Cole yatandika mu 3. Ekyo ng’okitadde ku bbali ate oluvannyuma ne kitegeerekeka nti kapiteeni wa Chelsea John Terry yali abojjerera omukazi Bridge gwe yazaalamu omwana era bwe baasisinkanya Bridge yagaana okukwata Terry mu ngalo. Mu kisaawe Man City yakubira Chelsea omwayo 4-2.
Asinga obubonero yawangula liigi
Roberto Mancini bw’aba alowooza nti anaawangula ebikopo e Bungereza alina okubuulira abazannyi nti mu liigi asinga obubonero y'atwala ekikopo sso ssi asinze okukuba abanene. Bw’okuba Chelsea oba West Ham era ofuna obubonero busatu. Tekikuyamba kukuba banene abatono ne bakukuba n’okukusuuza obubonero
Chelsea yennyini aba Man City gye baakakuba gye baba balabirako. Wadde abamu bagamba nti yatandika na ttiimu ntono, esobodde zonna okuzikuba n’okuteeba ggoolo 20 mu mipiira etaano.
Man U lwe yasembayo okutwala ekikopo mu sizoni ya 2008/9 ku ttiimu ennya ennene yawangulako omupiira gumu gwokka kyokka obutabeera na kisa ku butiimu obutono kyagiwanguza ekikopo.
Bw'oba olina ky'oyogera ku muko guno wandiika ekigambo KAGGWA olekewo akabanga ozzeeko obubaka bwo oweereze ku 8338 oba kubaganya ebirowoozo ku http://andrewkaggwakafeero.blogspot.com.
Ends.
Subscribe to:
Post Comments (Atom)

No comments:
Post a Comment